Exodus 25:31-40

Ekikondo ky’Ettaala

31 a“Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 32Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 33Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli. 34Ku kikondo ky’ettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli by’alumondi nga mulimu emitunsi n’ebimuli. 35Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo. 36Emitunsi n’amatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba n’ekikondo ky’ettaala.

37 b“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo. 38Makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere. 39Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako. 40 cWeegendereze, byonna obikole ng’ogoberera ekifaananyi kye nkulaze wano ku lusozi.”

Copyright information for LugEEEE